OLUKIIKO TTABAMILUKA


OKUKAKA OMUKWAANO, OBUSOSOZE MULANGI n’OBWAMALAAYA

Okulwanilira obwenkaya

mumulembe gwekyasa kya 21

Arabic Chinese  Czech  Deutsch   English   Español   Français   Hindi    Italiano    Polski     Português     Svenska     Türkçe

 

Kulwomukaaga nga 10 Omwezi gwokusatu (March) 2007

Okuva ku ssaawa nnya ezokumakya okutuukira ddala kussaawa kumi n’emu ezolweggulo

Trinity United Reformed Church

Buck Street, London NW1

(Kunkomerelo ya Kentish Town Road, emabega wa Sainsbury’s, Camden Town tube)

Okuyingira: £20 ebitongole ebisasulibwa n’abakola emirimu emitendeke ; £10 abakozi baabulijjo; £5 abafuna emisaala emitono;

£3 abatakola; abanonyi bobubudamu tebajja kusasula

Wabula tewali ajja kugobebwa ngatalina ssente ziyingira.

Ebifo ebikyamibwaamu okweyamba biri kumpi ate nga n’abalema, abatambulira muntebe basobola okubikozesa.

Mwenna mwanirizibwa

 

ENTEEKATEEKA

Essaawa ssatu n’ekitundu (3:30):  Kwewandiisa  n’okunywa kyayi

 

Essawa nnya okutuuka ku mukaaga
(4 -  6) Okukaka omukwano era n’okutulugunyizibwa mumaka – Obwenkanya BUSOBOKA okufunika

N’abakyaala ba  Black Women’s Rape Action Project ate  Women Against Rape

 

Bingi nnyo ebikyuuse bukya kegugungo kokulekelaawo okuliisa amanyi n’okusobya kubakyaala kutandika emyaka 30 egiyise. Okukaka omukwano mubufumbo kati musango.  Abantu batono kati abakyalowooza nti “abakyaala bebaba betaaga ”; era abasajja bakiliisa maanyi bakyatebuka omusango guno.  Omuwendo gw’abo begusse muvvi  ngabamaze okuwawaabirwa olw’okuliisa amaanyi gusse wansi 5.3% wabula bbo bakazi battu abaloopa beyongerwa kussibwa mukaduukulu. Abakazi bangi abanonnya obubudamu ngabadduka gakiliisa maanyi gano ate babazzayo gyebadduka!

 

Abakyaala bajja kwogera kungeri omuntu gyayinza okwewonya obutakwatibwa ga muliisa maanyi n’okutulugunyizibwa mumaka, okuyita mumitendera gy’amateeka, okuyita muntalo nekubafuzi banaakyemalila, okuyita mubintu ebikwaata kubagwiira (immigration), okuwangula omuntu akuwaabidde mukkooti, okuwangula obutazzibwayo ngatewesiimidde, etteeka erijja eliziyiza obutabanguko era erileese enkyukakyuka mu Venezuela . 

 

Essaawa mukaaka okutuuka ku musanvu  
(6 – 7)  Ekyemisana –  kigula nseko. Emmere eyebivavava ebizzaamu omusaayi nayo weeri

 

 Essaawa musanvu okutuuka kumunaana n’ekitundu
(7 – 8.30) Amawanga n’obusosoze –  Okutegeeza obobuyinza  okufa kubakyaala abatali bakyeluppe

Wamu n’abakyaala  bakaddugala mu Global Women’s Strike n’aba Black Women’s Rape Action Project

 Ebikolebwa mumuzanyo oguyitibwa “Big Brother” bilaga nti abantu abasinga bayayanira nnyo okumalawo ebintu ebitwawula.  Naye engeri bakagutegeka gyebavumiriramu enjawukana z’ebyobuwangwa bwabantu, eyongera kugaziya lukonko era nekweka bbugwe aliwo wakati wabalina nabatalina ebiva mubusosoze byabakyeluppe.  Ebivve by’obusosoze 7 kubuli 100 byebilowozebwa oba ebisangibwa nti misango.  Okulwana kw’abakyaala abanoonyi bobubudamo abasibwa n’okuzzibwayo ewabobwe kyekimu kubintu ebilwanyisa obusosoze nokwawula mubantu naye kino teli akilaba. Omugugu oguteekwa ku bakyaala ngabalwanyisa ebikolobero n’abaserikale abalumba abasilaamu bikwekeddwa nnyo.

 

Tujja kuwulira: abakyaala abalabilira amaka, omilimu omunene ogwokulumiriza nokussisa muvvi omusosoze w’omukyaala omuyisiraamu; abakazi abawolereza abasajja ­– Mumia Abu-Jamal alindilirwa okussibwa kukalabba. 

 

Essaawa munaana n’ekitundu okutuuka kussaawa mwenda
(8:30 – 10)    Okuwummulamu ne kyayi

 Okutulugumbulwa kw’abakazi abataano e IPSWICH kwaleeta ensasagge mubantu. Abantu bonna kati bakimanyi nti okufuula omusango ekyokwegadanga n’omuntu ng’okkirizza kyongera kukulila bwamalaaya era n’okwanguyiza abakazi okutulugunyizibwa ngatebasobola kwelwanako; kakibe ng’ekigenderewrwa kulemesa bakazi oba basajja ababapangisa. Ebikolobelo by’okusobya kubakazi ebisinga tebiloopebwa olw’okutya okisibibwa; ate oluusi lwakuba nti abaserikale ba poliisi babiziimula. Bamalaaya bwebataba nabukuumi tewali mukazi alina bukuumi.

Okuggulawo olukiiko “Safety First Coalition” okujjawo omusango gw’omulimu ogwokukuba obwa malaaya kwesigamizibwa ku ngeri ensi New Zealand bwegukuguseemu era nelutunuulira engeri endala eyokukulakulana muby’ensimbi n’okwejjanjaba okusaanye.

 

Essaawa kumi n’ekitundu onutuusa ekkumi n’emu
(10.30 – 11) – Okukolela awamu okufuna obwenkanya

Tukolaganira wamu okuleeta enkyukakyuka; kale tulina okuteesa n’okuwa ebilowoozo kwebyo ebibaddewo mulunaku luno lwonna.

www.globalwomenstrike.net

Home